Abamu ku batuuze mu Nabweru South 2 ne 3 mu Ggombolola ye Nansana abagambibwa okwensenza mu lutoobazi lwo mulubigi tebalinze ba Kitongole ki NEMA kubasenda wabula bakuttemu ebyanguwa nebaamuka amaka gaabwe nga bukyali. Abamu bafunye obudde okuggyamu amadirisa n'enziji mpozi n'amabaati okulaba nga tebyonoonebwa Kyokka basigadde bakukuluma olwa NEMA obutagoberera budde obw'ennaku 21 ze yabawa okwamuka. #NTVNews #Akawungeezi
For more news visit www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter / ntvuganda
Like our Facebook page / ntvuganda
9 сен 2024