Kamalabyonna wa Buganda Charles Peter Mayiga asimbye olukongolo ku kitongole ekivunanyizibwa ku butonde bwensi mu ggwanga ekya Nema obutalabula bantu abasenza mu ntobazi ekyavuddeko abaasoba mu 300 okubamenyera enyumba zabwe nebafuuka emmomboze. Bino katikkiro abyogeredde ku kisaawe ky’e Nabweru mu ggombolola y’obwa bakabaka eya Mutuba ebiri ngagalawo omwoleso ogubaddeme ebintu ebyenjawulo ogubumbujjidde ennaku ttaano.
20 июн 2024