Andrew Sagu ow'emyaka 34 amaze emyaka 8 nga ekitundu ky'omubiri gwe ekya wansi kyasannyalala, oluvannyuma lw'okusirittuka n'agwa mu kinnya kya kazambi. Ono obulumi bw'alimu tebuloggyeka kubanga ebyuma ebyamutekeebwamu okugatta amagumba agaamenyeka mu mugongo ate bitandise okuvunza ennyama nga kati avaamu amasira. Abasawo batubuulidde nti embeera ya Sagu yandiba ey'olubeerera, nga alina kuguma ayigirizibwe okubeera nayo.
#NTVNews #Akawungeezi
For more news visit www.ntv.co.ug
Follow us on Twitter ntvuganda
Like our Facebook page NTVUganda
26 дек 2023