Akoola oba akola? Webuuza lwaki lubaale wo akuwa nga tonaba mukola? Hahaha munange kibuuze jajjaawo. Naye lubaale nga tomusamidde....ntegeeza kumusalira era nebamusiba amaliba....lubaale oyo baba tebamulayiza era aba mwangu nnyo okusoba. Era aba mwangu mu kukutta nga osobezza. Ogambye akuwa amaloboozi...ye ekyo kibaawo....buli mpewo etuula bwaayo...okutwaliza awamu.
Ziba mpewo zo....naye okulumisibwa omutwe.....eyinza okuba Kiwanuka, oba Bamweyana, oba Ddungu....olaba ne musoke nga akunyweddemu amazzi..... omutwe gukuluma.....naye manya nti mpewo zo
Wewawo....nze Najjuko prossy naloose nga nzizeyo mukyaalo naye bwenatuse mupark emasaka nabadde ne bag ne kiveera kyengoye zabaana nebimbulako era nabadde na baana babiiri nabo nebambulako.
Nalongo Kizaaza yaloosa nga oweese abaana muka Kinenenyumba. Omwana nga akugamba nti ye Nakayima oba ayatudde elinya Nakayima....kilabika ewamwe emandwa ya Nakayima muka Ndawula gyaali.
Gwe gwo omuzimu ogutambula nawe, ne Walumbe waakwo. Yambaza omuzimu....wongerera ebitambo ne Walumbe....ofune ku kalembereza....okole sente awo omale obasire bajajjaabo
Jjaja nkulamusiza sebbo. Obudde bwawungeera nebuziba nga ntunula saawa mukaaga mutuntu. Nebusansana nga ndaba era nga ntegeera era natyannyo. Simanyi oba lubaale oba ddoggo. Jjaja nsaba ku nungamya
Naloose nga ngenda ne ntamu nga ndi kubooda naye bwenatuse mu kubo nengiwa mutowange agitwale eka ate olwamaze ne njagala okaba naye nga sisobola kwogera
Nekilala ndoota nyo nga abantu abesibye engoye enjeru nga abasiramu abasajja zebambalira emeka nga basiiimbye line. Mu maaso nga waliwo FATHER abasiiiga holy water. Naye nze naze neesibye towel naye nga ya white. Kati nendaba nga nswaala nenemulungulura nenvaawo
Bajajjaabo bava mu western cultures....oyo father asiiga holy water mu bwa trinity.....Mukasa, Kiwanuka ne Musoke.....bakuloosa enyanja, nyonyi, bbomu, technology, okusanga Musoke mu kubo. Kamunguluze, amabwa mu bulago...nebilala bingi
Taata webale kutuwereza, mbuuza nti kisoboka okulagulwa empewo zamirundi nga ebiri nezikulaga nti ekintu kijakubawo ate empewo eyandibadde eyokusatu yo nekiwakanya??