Ndoota ntambula muluguddo nendaba kufulu nga erimu ebisumuluzo nga sinsimulule nendaba neyokubiri newabawo omusajja eyajira kupiki piki nagenda ewuwe nga bamubbye ne bamenya enyumba ye nemugamba nti eri waliyo kufulu zebasudde
Okufuna omuntu anatereeza lubaale wo yenna, mbu abalongo ba kinene, abalongo abazaale, emizimu, lubaale, amayembe, ne misambwa? Oyo taliiyo. Naye otambuuza nsonga ku nsonga.....nga bwogenda ku check up awalala olabe oba bitambudde bulungi.....bwoliba otuuse eUganda tulikulagira awantu wewaba wakubuzze. Akukuume.
Jajjaawo gwoba oyita muganda wo oba mujja wo yayitira mu kifaananyi kya muganda wo....most likely bafaanaganya elinya oba obutonde bwaabwe....nti katugambe bbombi bazaala abalongo. Kilabika jajjaawo yali munozzi wa ddagala, nga gwegwali omulimu gwe.
Mwanyinaze tusiima nyo naye empewo zinumye oba lulikya nenkusisinkaana nonyamba ku nsonga za ba jjajja nge ye ssaala jensaaba ndi waala nyo naye lulituuka kuba bebandetaayo
Kibuuka omumbaale n'omuzimu bebaloosa eggaali......naye lubaale oyo yalina essabo nga era omuzimu ogwo oba kibuuka omumbaale nga yakola.......naye mu kutegeera okwange eggaali etaliiko mayembe ya muzimu.......gwakolanga era gwalina nga essabo